Omuwendo gw’abaana okuva wansi okutuuka mu myaka 17 gweyongedde
Okusinziira ku byafulumiziddwa ekitongole ky’ebibalo ki UBOS omuwendo gw’abaana okuva wansi okutuuka mu myaka 17 gweyongedde nga kati gusinga ku bantu abakulu. Ekitegeeza nti omuwendo gw’abantu ababeerawo ku lw’abalala - kati abakugu mu nsonga z’abantu bagamba kino kisobola okukosa eby’enfuna by’eggwanga.