Peter Mayiga asabye gav’t okwongera amaanyi mu by’obulamu
Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga asabye gav’t okwongera amaanyi mu by’obulamu okusobola okwanguyiza abantu okujjanjabwa endwadde ez’enjawulo. Ono agamba gav’t ekyalagayizza ku nsonga z’obubbi bw’eddagala mu ggwanga obulese bangi nga bataawa ate abalibba nebasigala nga bataayaya. Okwogera bino, abadde mu nsisikano n’ab’ekibiina ki Uganda Kidney Association abakedde okukyala embuga okusaba Buganda okubakwatizaako mu kulwanyisa obulwadde bw’ensigo.