Poliisi e Kalungu ekutte babiri ku bigambibwa nti babadde batulugunya omwana
Poliisi mu disitulikiti y’e Kalungu eriko abantu babiri beekutte ku bigambibwa nti babadde batulugunya omwana ow'emyezi 8 n'ekigendererwa eky'okwagala okumutta. Kigambibwa nti bano baasendasenda nnyina w'omwana Hajarah Nakakinda olw’okuba muzibe nebamumugyako nga baagala afe akalandira akabagatta kagwewo.