Poliisi y'e Wandegeya ekutte abavubuka basatu abagambibwa okubba abantu nga bakozesa piki piki
Poliisi y'e Wandegeya nga ekulembeddwamu DPC Hassan Hiwumbire ekutte abavubuka basatu abagambibwa okubba abantu nga bakozesa piki piki. Bano kigambibwa babadde babba abasabaze nga bwebatuuka mu bifo ebyekusifu nga babanyaga. Abakwate bakkiriza nti ddala kituufu babbi, nebasaba poliisi ebasonyiwe.