Ssente z'emyooga bazibye: Aba Boda Boda e Kimaanya-Kabonera basobeddwa
Aba Boda Boda abeegattira mu kibiina kyabwe ki Kimaanya-Kabonera Boda-Boda Sacco bali mu kusoberwa olw’okulumbibwa ekibinja ky’abavubuka nebabbako sente zaabwe akawungeezi k’eggulo.
Bano baabalumbye ku wofiisi yabwe esangibwa e Kijjabwemi mu Masaka nga baliko bannaabwe bebaabadde basomesa okuwa ssente z’okwewola ekibinja ky’ababbi wekyabazingiddeko.
Ensimbi eziri ezikunnukiriza obukadde 6 zezabiddwa.