Twetaaga eddwaliro eddala, ab’e Makindye Ssaabagabo basabye gavumenti
Abantu abasoba mu 500 bakedde kweyiwa ku dwaliro lya Zanta e Ndejje mu munisipaali ya Makindye Ssaabagabo okufuna obujjajambi obw’obwerere mulusiisira lw’eby’obulamu olwategekeddwa abakulembeze mu kitundu kino. Abakulemebeze basabye gavumenti okubazimbira amalwaliro mu kitundu kyabwe saako n’okusuumusa edwaliro lya Zante health Center IV.