Okubala abantu: E Mubende ebikozesebwa bitwaliddwa ku magombolola
Disitulikiti y’e Mubende ewadeyo ebintu ebigenda okukozesebwa mukubala abantu eri bakalabala baabwe mu magombolola 18 agakola disitulikiti eno.
Ebimu kubintu ebiredwayo kuliko ebyuma bi kalimagezi ebisukka mu 1200, ebigenda okuterekebwa ebikunganyiziddwa oba kiyite Data Banks nazo ezisoba mu 1200 kko n’amabaluwa agakakasa abagenda okukola eddimu lino ery’okubala abantu mu disitulikiti eno.
Omubaka wa pulezidenti e Mubende asinzidde wano n’asaba abantu okugondera enteekateeka eno.