EMPAKA ZA BADMINTON: Ttiimu y’eggwanga yaakwolekera Cameroon mu mpaka za Africa
Abazannyi ba ttiimu y'eggwanga eya badminton abawera munaana baakusitula ku Lwomukaaga okwolekera ekibuga Douala ekya Cameroon gye bağenda okuttunkira mu mpaka za Africa ezimanyiddwa nga All Africa Senior Badminton Championships ezigenda okugyibwako akawuuwo ku Ssande eno. Ku bano kuliko n’omuwala Fadillah Shamikah eyawangula omudaali gwa zaabu mu 2023 mu mpaka zino. Bano bagamba nti beetegefu okuvuganya mu mpaka zino .