Bannamateeka bavuddeyo ku by’ensala ya kkooti ensukkulumu
Ekibiina ekitaba banamateeka ki Uganda Law Society kiraze obwennyamivu olw’ensala ya kkooti enskukkulumu etaaliko biragiro ebirina okugobererwa oba ebbanga eggere, okuteekesa mu nkola ebiragiro bye yayisa ku kkooti y'amagye. Bano bagamba nti kino kyeviiriddeko akavuyo akaliwo mukutaputa ekirina okukolebwa obudde buno ku misango egyali giwozesebwa mu kkooti eno. Olwaleero aba NUP nabo baddukidde mu kkooti okugisaba ekake ekitongole ky'amakomera okuyimbula abantu baabwe abali mu nkomyo ku biragiro bya kkooti y'amagye.