Waliwo abatenderezza Aga Khan by’akoze mu byamawulire mu ggwanga
Abamu ku baaliko abakozi nabaludde nga bakolera emikutu gyamawulire egyenjawulo mu kitongole ki Nation media group batendereza Omulangira Karim Alhussaini Agha Khana IV olw’omutindo gwagase ku byamawulire wano mu ggwanga. Ku bimu byebanokodeyo yengeri y’omukuttu gwa Nation Media group gyegusakamu amawulire awatali kyekubira, okunoonyereza kunsonga ezitali zimu ko n'okuteeka gavumnenti ku nninga kunsonga eziruma bannyuganda era nezisalirwa amagezi.