Waliwo alipoota esembye nti ebigezo bya PLE biggyibwewo
Alipoota y'akakiiko akalondoola ebyenjigiriza mu ggwanga ka Education Policy review commission esembye eky'okuggyawo ebibuuzo by'ekibiina ekyomusanvu ebyakamalirizo oba PLE wabula batandike okugezesebwa mwebyo ebibasomeseddwa kiyite Continuous Assesement. Bannabyanjigiriza , enkola eno bagisembye nebategeeza nga bwegenda okumalawo ensomesa yomuwawa mu masomero.