ENSALA YA KKOOTI ENSUKKULUMU:Mao n’ababaka balidde matereke ku ntaputa y’ebiragiro
Wabaddewo okukubagana empawa ku ntaputa y'ebiragiro bya kkooti ensukkulumu wakati wa Minisita w’amateeka Nobert Mao n'ababaka ba palamenti. Mao ategeezezza nga kkooti ensukkulumu bwetalagirangako kyakuyimbula basibe mu nsala gyeyawa bweyali ejjungulula emirimu gya kkooti y’amagye wiiki ewedde wabula yalagira emisango egiriyo giddizibwe mu kkooti ezaabulijjo. Kino kijje ababaka mu mbeera nebasaba minisita Nobert Mao anyonnyole palamenti etteeka abasibe bano mwebakyaakuumirwa mu nkomyo.