EBIKUJJUKO BYA TAREHE SITA: Museveni yeenyumiriza mu bituukiddwako amagye ne gav’t
Omuduumizi w'amagye Gen. Mohoozi Kainerugaba naye leero avuddeyo nalaga obwennyamivu olw'ensala ya kkooti ensukkulumu eyajungulula obuyinza bw'a kkooti z'amagye okuwozesa emisango gyannaggomola. Muhoozi alaze okutya nti ensala eno yandiviirako emirembe okutabanguka kubanga kkooti y'amagye ebadde ekoze kinene nnyo okunyweza emirembe. Ono abadde Mubende ku bikujjuko bya Tarehe Sita eby'omulundi gwa 44 gyasinde okutegeeza nga bwe bagenda okukola ekisoboka okulaba nga kkooti eno eddizibwa obunyinza bwayo. Pulezidenti Yoweri Museveni yabadde omugenyi omukulu ku bikujjuko bino.