OMULIRO E KARAMOJA:Abantu abaakosebwa bakyatenda ogwabasaanyizaawo amayumba
E Karamoja omuliro gwalese gunsanyizaawo ebintu ebitamanyiddwa muwendo, n’abantu abasoba mu 1,500 mu district ez’anjawulo negubaleka nga tebalina webegeka mba. Mu gombolola y’e Lorenget mu Disitulikiti y’e Nabilatuk, amaka 186 gasanyeewo, era namukadde Makone Kapeyok ow’emyaka 72 y’omu ku bakaaba era omuliro guno akyagunyenyeza omutwe ng’embuzi etenda enkuba. Obuzibu bwe bumu obwatuuse ku bantu mu Disitulikiti y’e Kotido ng’eno amagombolola mukaaga, gakoseddwa era abaayo beeralikiriza ku njala ani amuwadde akatebe kubanga n’emmere gyebali baterese mu byagi yafuuse vvu. Kati bano essuubi libali mu gavumenti bweppo n’ebitongole by’obwanakyeewa okuyamba abantu okuddamu bezimbe buto.