Ekibinja kya mountain division kyenyumiriza mu bikwekweto e Congo
Amagye ga UPDF agalwanyisa abajambula ba ADF mu gwanga lya Congo gagamba nti emirembe egiri mu Uganda ne mu buvaanjuba bwe gwanga lya Congo gyeyongedde okunywera olw'ebikwekweto byaabwe n'amagye aga FARDC ageggwanga lya Congo mu bitundu bino. Bino Col. Paul Muwonge abyogeledde ku mukolo gwo okukuza Tharehe sita ogwa Mountain Division mu bitundu bya Rwenzori ogubadde ku kisaawe ky'omupiira ekya Buhinga.