Waliwo ekiteeso abajaasi abakiika mu palamenti bakomye okuggyira mu yunifoomu
Akakiiko ka palamenti akakola ku by’amateeka kaliko alipoota gyekaayanjizza eri olukiiko lwa palamaneti eyaawamu nga kateesa nti abajaasi abakiika mu palamenti bakome okujjira mu byambalo by’ekinnamagye. Bano bagamba nti bannamaggye mu palamenti bagendayo nga ababaka abalala, kale nga tebalaba nsonga lwaki bajjira mu byambalo, olumi ebitiisa ababaka abalala. Kyoka akakiiko kano kaagobye okusaba wofiisi y’atekateekera palamenti, nga ono yabadde ayagala bannamawulire bagaanibwe okuddamu okubeera mu kisenge kya palamenti mu kadde akokuteesa.