UBOS etangaazizza ku byava mu kubala abantu
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku bibalo mu ggwanga ki Uganda Bureau of Statistics (UBOS) kikkirizza nga bwekyakola ensobi mu bibalo ebyakunganyizibwa mu kubala abantu okwakomekkerezebwa.
Bagamba obuzibu bwali okusingira ddala ku bikwata ku mawanga kwossa ne diini.
Kino kidiridde bannayuganda bangi okuwakanya ebyavudde mu kubala abantu ku mulundi guno nga bagamba birimu ebiri amatankane nga empale z’abaseveni.