Akatuubagiro ku musolo: Ababaka baagala wabeewo okukkaanya
Ababaka ba palamenti baagala akatuubagiro akaliwo wakati w'abasuubuzi n'ekitongole ky'ebyomusolo ki URA Kagonjoolwe mangu .
Bano bagamba eggwanga terisobola kugumiikiriza kufiirizibwa okweyongera buli lukya nga abasuubuzi bagaddewo amadduuka gaabwe.
Abasuubuzi mu Kampala nga beegatiddwako ebitundu ebirala nga Luweero Jinja , Masaka nawalala bawakanya enkoola y'okusolooza omusolo eya Efris eyateekebwawo aba URA.