OBUBBI BWA KOOKO : E Bundibugyo basula ku tebuukye, kivudde ku beeyi erinnye
Kitegerekese nga oluvanyuma lwa bbeeyi ya Kkooko okulinya mu bitundu bye Bundibugyo abalimi ate kati basula ku tebuukye . Bbeeyi ya Kkooko yalinnya okuva ku nnusu kasanvu okutuuka ku mitwalo esatu mu lukumi wiiki ewedde , so nga ate kati yeeyongedde kumpi kutuuka ku mitwalo esatu n'ekitundu . Kino kiviiriddeko ababbi okutandika okwetala nga kati abalimi batuuse n'okwekolamu omulimu nebasula nga bakuuma , sso nga abalala basula naye mu mayumba wabula nga tebeebaka.