Akakiiko ka palamenti akalondoola enkola y’emirimu gy’ebitongole bya gavumenti kayise abakulu abaakulemberamu omulimu gw’okugula ennyonyi za Uganda Airlines bajje bakannyonnyole bulungi ekyabatanula okugulira eggwanga ennyonyi enkadde ate nga n’empya mu maduuka zaaliyo.Abakulu ku kakiiko bakitegedde nti abaddukanya ennyonyi zino batambula n’obwoya ne bubaggwa ku ntumbwe nga banoonya ebyuma ebiziddabiiriza ate nga webaba babisanze biba bya buseere.Nti kino kizze kifiiriza gavumneti obuwumbi 237 okusinziira ku alipota ya ssaababalirizi w’ebitabo bya gavumenti.