Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga alazze obwennyamivu olw’abaami abasuddewo obuvunaanyizibwa bwabwe ekiviiriddeko ekitiibwa ky’amaka okunafuwa nga beekwasa obusongasonga.Katikkiro akuutidde abasajja okwejjamu ekyeejo n’okwesaasira saako n’okwewala emize ng’ettamiiro n’obwenzi by’agambye nti bino bitta ekitiibwa ky’omusajja mu maka.Bino bibadde mu ttabamiruka w’abaaami ow’okubiri ategekeddwa obwakabaka bwa Buganda.