Okugula ettaka, okutandika SACCO z’abaaweereza n’okuzimba ebizimbe ebivaamu ensimbi byebimu kwebyo Obulabirizi bwa Ruwenzori West bye bwenyumirizaamu mu myaka ebiri gye bumaze nga butongozeddwa.
Omulabirizi w’obulabirizi buno Barnabas Tibaijuka agamba nti bbo ng’abaweereza balekeddwa bbali mu nteekateeka za gavumenti okwekulaakulanya nga yensonga lwaki batandiseewo SACCO okubajuna.