Poliisi mu bitundu bye Kyoga North etubuulidde nti bakannyulula emirambo esatu egyabantu abazze batwalibwa amataba agaasazeeko ekitundu kya Lango, Acholi ne Karamoja olwenkuba efudemba ensangi zino. Distulikiti okuli Abim, Alebtong, Amolatar, Otuke, Dokolo ne Kwania zezimu kuzisinze okukosebwa enkuba eno. Okusinziira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Kyoga North, abantu abalala mwenda bakyabuze era nga tebamanyiddwako mayitire.