Akakiiko akalera eddembe ly’obuntu ka Human Rights Commission kakizudde ng’amakomera agasangibwa mu disitulikiti okuli ibanda ne Kiruhura gegakyasinze okubaamu enkola eyokutulugunya abasibe.Bano bagamba nti bakizudde nga abaserikale bangi basaba abasibe ssente baleme okubakozesa emirimu emikakali, bwebasanga atazirina olwo nga bamuyisa mu kutulugunyizibwa okutagambika.Bino babyogedde bali Mbarara gyebagenda okumala ennaku nga bawulira abantu abeekubira enduulu okwokulinyirira eddembe lyabwe.