Akulira akakiiko k’ebyokulonda omulamuzi Simon Byabakama ayagala wabeewo etteeka erikugira yenna asangiddwa nga agulirira abalonzi okuddamu okwesimbawo ku kifo kyonna.Byabakama agamba okweyambisa omusimbi okugulirira abalonzi n’okugaba enguzi kitadde eby’okutegeka akalulu ak’amazima n’obwenkanya mu matigga.Bino abyogeredde ku Speak Resort e Munyonyo mu kukubaganya ebirowoozo ku ngeri y’okulaba nga eby’okulonda mu ggwanga babamu amazima n’obwenkanya.