Okusika omuguwa okulabikidde ku bifo by’olukiiko olufuzi olwa NRM olumanyiddwa nga Central Executive Committee oba CEC kigambibwa nti kivudde ku kweyagaliza okw’abantu ssekinoomu n’endowooza y’abamu kubano okugulaba nga omukisa ogwongera okusembera okumpi ne Ssentebe w’ekibiina era omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni.Eyaliko Ku lukiiko luno Captain. Francis Babu agamba nti okujjako okweyagaliza naye ekifo kino obuvunaanyizibwa obwakitekebwako n’ensako ejjirako tewali kiyinza kuleetera muntu kukirwanira.