Bannamateeka ba Sam Mugumya eyaliko omuyambi wa Dr Kizza Besigye batekaateka kuddukira mu kkooti y’eba ebayambako ewalirize gavumenti emuleeta oba nga mufu oba mulamu.Mugumya yabuziddwawo olunaku lw’eggulo abantu abalowoozebwa okuba ab’ebyokwerinda nga bali mu ngoye eza bulijjo nga baamusanze mu bitundu by’e Mbarara nebamuvugira motoka kika kya drone.Bangi mu banywanyi be, batubuulidde nti bbo bakkirizza nti amagye ge gamulina kyokka UPDF bino ebisambazze.