Kkooti enkulu mu Kampala ewadde ssaabawokereza wa gavumenti n’ebitongole ebikuuma ddembe ennaku musanvu zokka okuleeta omusajja Samuel Mugumya mu mbuga z’amateka avunaanibwe emisango gy’ayinza okuba nga yazza. Omulamuzi Achellam Collins okusalawo bwati kiddiride bannamateeka ba Mugumya nga bakulembeddwamu Kato Tumusiime okutwalayo okusaba kwabwe nga bagamba nti muntu waabwe yawambibwa mu ngeri ekyabulima kati ennaku zigenda mu mwenda. Bano bagamba nti balina obukakafu nti Mugumya akuumirwa mu bimu ku bitongole ebikuuma ddembe mu kampala kale nga baagala avunaanibwe. Kati bakukomawo mu kooti nga 12 omwezi guno okulaba oba ssabawolereza wa gavumenti anaaba ogondedde ekiragiro kino