Abantu abazze basimattuka okubumbulukuka kw’ettaka mu disitulikiti nga Buduuda, Bulambuli ne Sironko bonna baakung’anyizibwa mu nkambi ye Bunambutye okugira nga beewogoma eyo. Kyoka olw’omugotteko bangi ku bano abajja nga bafumbo amaka gaasattulukuka, abaalina ku nsimbi kati baavu mponga byoya. Eky’ennaku bano batubuulidde nti mu bbanga lyebakamala wano tebaweeebwa nga nsimbi gavumenti zeyali yabasuubiza basobole okutandika obulamu obuggya.