Abamu ku baabaga ssemateeka w’eggwanga owa 1995 baagala wakolebwewo ennongoosereza mu ssemateeka n’ekigendererwa eky’okuva ku nfuga ey’ekipooli oba giyite Unitary System of Governance. Bano basinzidde ku kyakuba nga enkola ey’okugabana obuyinza ne gavumenti ezebitundu giyite Decentralization tetuukiriziddwa bulungi Bano bagamba nti kyekiseera gavumenti ekkirizze edde ku nfuga eyokugabanya obuyinza oba eya Federo