OBUTAMBI BWA AMPE:Byabashaija ayisizza ebiragiro ebikakali ku basirikale b’amakomera

Olive Nabiryo
1 Min Read

Ekitongole ky’amakomera kiyisizza ekiragiro ekikakali ku baserikale baakyo, okukwatiibwa bavunaanibwe singa basangibwa nga beenyigidde mu by’obufuzi mu kiseera kino.

Ekiragiro kino kiyisiddwa akulira ekitongole ky’amakomera John Byabashaija nga kiddiridde omu ku baserikale baabwe Lawrence Ampe okutandika okuwanika obutambi ku mukutu gwa TIKTOK obusekeeterera gavumengi ne bakamaabe nga bwebadibaze eggwanga lino.

Ampe ono mu butambi bwe, alagira ddala nti ayogera talina kutya, kubanga ne bweyalabulwa abakulu, yasigala akyabaanukula n’okubajjukiza nti baswaziizza eggwanga lino.

TAGGED:
Share This Article
Leave a review

Leave a Review

Your email address will not be published. Required fields are marked *