Ebibuuzo byeyongedde ku mayitire ga Sam Mugumya oluvannyuma lw’amagye okutegeeza kkooti etaawulula emisango gy’engassi nga bwe gatamulina. Mu kiwandiiko ekiyitibwa Order of Obedience, amagye kye gatadde mu kkooti olwaleero, geegaanye okubaako nekyegamanyi ku mayitire g’ono oluvannyuma lw’okumunoonya mu buduukulu bw’ebitongole byago byonna nga taliiyo. Onojjukira nti ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde, kkooti eno yafuluya ekiragiro eri omuduumizi wa Poliisi, Ekitongole kyamagye ekikessi ne ssaabawalereza wa gavumenti okuleeta Mugumya oba Mulamu oba Mufu.