Ab’ebyokwerinda mu mabendobendo okuli Wamala ne Rwizi basiibye bajjukiza baserikale ba poliisi ku nkola entuufu gyebalina okuyitamu okukakanya obujagalalo, naddala mu kaseera kano nga eby’obufuzo byongedde okukwata abantu omugamba. Bano bayisiddwa mu bukodyo obupya bwebalina okweyambisa okukakkanya abantu abavudde mu mbeera, kko nabasangibwa nga bakubye enkungana ezimenya amateeka awatali kusooka kubalumya.