Tekitera kusangika munnabyabufuzi yenna okwesimba mu bitundu eby’enjawulo nga byesudde ate n’awangula akalulu. Wabula Omubaka wa Igara East mu palamenti Mbwatekamwa Gafa, y’omu ku bannabyabufuzi asobodde okwesimba mu bifo eby’enjawulo era nawangula. Mu Palamenti ey’ekkumi, Mbwatekamya yali akiikirira bantu be Kasambya mu disitulikiti ye Mubende, kyokka akalulu ka 2021 bwe katuuka neyesimbawo ku ky’omubaka wa Igara East mu disitulikti ye Bushenyi era nawangula. Kati mu kalulu ka 2026, Mbwatekamwa ayagala kya Meeya wa Mbarara City. Juma Kiirya awayizzaamu naye.