Abebyokwerinda bakakasizza nti Asuman Muganzi Mukirania, Omu abagambibwa okuba nga yeyakulemberamu obulumbaganyi obwakolwa ku bebyokwerinda mu disitulikiti ye Bundibugyo attiddwa. Ono yasangiddwa ku kyalo Mititi gye yabadde yekukumye. Abalumbaganyi abaakattibwa mu bikwekweto by’amagye mu kitundu kya Rwenzori baweze 42 so nga 90 be bakwate. RDC w’e Bundibugyo Johns Mugabiire agamba nti embeera ezze mu nteeko mu kitundu kino.
OBULUMBAGANYI E BUNDIBUGYO: Abebyokwerinda bagamba basse omu ku baaluka olukwe
0 Min Read
Leave a review
Trending News
Recent Updates
No posts found
