Webuzibidde olwaleero ng’abantu abasoba mu 125 mu district y’e Luweero be basunsuddwa okuvuganya ku bifo eby’ejawulo ebya government ez’ebitundu ku mutendera gwa District. Abavuganya ku kifo kya Ssentebe wa District bali bataano, songa ku bifo by’abakkansala b’amagombolola ne town council bali 120. Abasiinze obuungi bebo abatalina bibiina. Herbert Kamoga asiibye ku kakiiko k’eby’okulonda oludda olwo ng’agoberer ensonga era ebikirawo y’abirina.