Loodi Meeya wa Kampala Erias Lukwago yekokkodde engeri ab’ebyokwerinda naddala poliisi olw’okutaataaganya enteekateeka ze zeyabadde alina okugoberera mu lugendo lwe olw’okusunsulwa ekimuviiriddeko n’okulemesebwa okusaala eswala ya Juma gyebadde alina okukwatira ku muzikiti gwa Mbogo e Kawempe. Lukwago mu bitundu ebimu asanze akaseera akazibu okukozesa amakubo gaabadde ayagala okuyitamu kyokka poliisi ng’emuwugula ekireseewo okusika omuguwa.