Abantu bana kikakasiddwa nti bafiiriddewo mbulaga n’abalala abasoba mu 20 ne baddusibwa mu ddwaliro nga biwala ttaka oluvanyuma lwokuggwa ku kabenje ku luguudo olugatta Mubende ku kyegegwa.Akabenje kano kabadde ku kyalo Nabutiti mu gombolala ya Bagezza mu district ye Mubende, mmotoka ekika kya isuzu ebadde etise abantu ababadde bagenda okuziika mu disitulikiti ye Kassanda, bw’eremeredde omugoba neyetandaggira ennume yekigwo.