Emisango mu kkooti y’amagye: Kafuuzi ayogedde ku by’okukyusa fayiro z’abantu baabulijjo

Joseph Tumwesigye
1 Min Read

Amyuka ssabawolereraza wa gavumenti Jackson Kafuuzi agamba nti bakola buli kisoboka okukyusa fayiro z’abantu ba bulijjo abaali bavunaanibwa mu kkooti z’amaggye zitwalibwe mu kkooti eza bulijjo nga kkooti ensukkulumu bweyalagira.

 Kafuuzi akkiriza nti kaweefube ono atambudde kasoobo, kubanga okuva ensala eno bweyafuluma, fayiro ya Dr. Besigye ne Obeid Lutalo yeeyokka eyakatwalibwa mu kkooti eya bulijjo.

 Kyoka bbo ababaka ba palamenti abali ku ludda oluvuganya gavumenti bagamba nti kino gavumenti ekikola mu ngeri ya bugenderevu okukuumira abantu bano mu kkomera naddala abawagizi ba National Unity Platform.

Share This Article
Leave a Comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *