Eyaliko ssenkulu w’ettendekero lya Makerere University Business School(MUBS), Prof Wasswa Balunywa amaze n’ayimbuddwa ku kakalu ka kkooti ka bukadde 15 ez’obuliwo. Abamweyimiridde nabo balagiddwa okusasula obukadde kikumi buli omu wabula nga sizaabuliwo. Balunywa ali ku misango gy’okukozesa obubi woofiisi ye wamu n’okuwandiisa abakozi mu ngeri emenya amateeka. Ono waakudda mu kkooti ng’enaku z’omwezi 15 ogw’ekkumi omwaka guno.
Prof. Balunywa ayimbuddwa: Kkooti emutadde ku kakalu kaayo, emutaddeko obukwakkulizo
0 Min Read
Leave a review
Trending News
Recent Updates
No posts found
