Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni musanyufu n’omutiibwa Aga Khan Ow’okutaano akulira abasiraamu aba Ismaili mu nsi yonna olw’okutumbula enkulaakulana mu ggwanga Uganda nga atumbuula ebyobulamu, eby’enjigiriza n’ebisaawe ebirala.Okumanya Museveni mumativu n’emirimu egizze gikolebwa Aga Khan, amuwadde n’omudaali ogw’ekitiibwa oguyitibwa Grand Master ne mwannyina n’amuwa oguyitibwa Grand Commander.Ababiri bano batongozza ettendekero Aga Khan e Nakawa nebatema n’evvuunike okuzimba eddwaliro eriri ku mutendera gw’ensi yonna.