OKUTONDAWO DISITULIKITI EMPYA :Ababaka abamu bajaganya, abalala banakuwalidde omuwi w’omusolo

Brenda Luwedde
1 Min Read

Ssabiiti ewedde kabineti yakakasiza okutondebwawo kwa disitulikiti endala 4 okutandika mu mwaka gw’ebyensimbi ogujja 2025/2026 , nga kuno kuliko Mukunju, Mulanda ne Kisoko ezikekejjuddwa ku disitulikiti ye Tororo kko ne Bughendera okuva mu disitulikiti ye Bundibugyo.Okutondebwawo kwa disitulikiti zino kijja kuba kitegeeza nti kati omwaka ogujja Uganda yakuba ne distulikiti 150, okuva ku 146 eziriwo, so nga n’ababaka ba palamenti bakuwera 562 okuva ku babaka 556.Twogeddeko n’abamu ku babaka ba palamenti nga abamu bajaganya,kyoka nga abalala banakuwalira ku bawi b’omusolo.

Share This Article
Leave a Comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *