Abavunaanyizibwa ku byenjigiriza mu kibuga Mbale baggade essomero lya Bumboi primary school erisangibwa mu waadi ye Bumboi lwa njatika eziri mu bibiina abaana mwebasomera. Okuggalawo essomero lino kujjidde mu kaseera nga enkya yaleero abayizi lwebazzeemu okukwazza emisomo gyabwe egy’olusoma olwokusatu. Essomero lino liggaddwa okumala sabiiti namba okusobozesa abakugu okwetegereza embeera y’olwatika olwabajjukka mu kitundu kino ku byalo ebiwera nga n’abatuuze abali eyo mu 500 baddukira dda ku muliraano beetegule ekibabu.