Abasomesa mu masomero ga gavumenti mu kibuga Kampala bakedde mu bibiina kusomesa bayizi, yadde ng’ekibiina ekibagatta ku UNATU kyalangiridde akeediimo olwa gavumenti okulemererwa okwongeza emisaala gy’abasomesa b’amasomo ga Arts. Abasomesa bano batubuulidde nti bbo eby’okwekalakasa okwalangiriddwa babadde babiwulirira nga ngambo nè ku mikutu gy’amawulire n’emitimbagano. Kyokka Bano bagamba nti ssi kyabuntu okuteeka wansi ebikola ng’ebula mbale abayizi okutuula ebibuuzo by’akamalirizo. Ssaabawandiisi wa UNATU, Filbert Baguma akalambidde nti bbo baakutambula n’abo abanyigirizibwa, okutuusa nga gavumenti ekoze ku nsonga yaabwe.