Katikkiro Mayiga asse omukago ne bamusigansimbi e Dubai

Brenda Luwedde
0 Min Read

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asse omukago ne Kampuni enzimbi eya Fakhruddin mu kibuga Dubai ne bakkaanya okuzimba ebizimbe bi galikwoleka mu Buganda kiyambeko okukendeeza ku bbula ly’amayumba agasulwamu.

Akulira kampuni eno Yousef Fakhruddin alaze katikkiro enzimba etambulira ku tekinologiya owomulembe, ate nga tetaataganya butonde bwa nsi.

Mayiga bino abituukiddeko ku bugenyi bwaliko mu United Arab Emirates gyeyalaga okusisinkana abantu ba kabaka abakolerayo, kko n’okutta emikago ne bamusiba-nsimbi.

Share This Article
Leave a Comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *