OKWANGUYIZA ABAYIZI OKUSOMA:Amasomero gaakweyambisa ennimi enzaaliranwa

Brenda Luwedde
1 Min Read

Okunonyereza okukoleddwa ab’ekitongole ekirambika ebigobererwa mu by’ensoma ki National Curriculum Development Centre kulaze nga eby’ensoma eby’abaana abali wakati w’ekibiina ekisooka n’ekyokusatu bwebandiyanguye,singa basomesebwa mu nimi enzaliranwa zebasinga okutegeera, oluzungu balusome nga essomo eddala lyonna. Byebazudde biraga nti okusomesa abaana mu nnimi ebbiri tekikoma kuyamba baana kuyita bulungi kyoka,naye kikendeeza nekwabo abawanduka mu masomero naddala mu byalo.Bano essira baalitadde mu bitundu by’eggwange eby’enjawulo, ne bazuula ennimi enzaliranwa ezigwana okukulembezebwa mu kusomesa mu ggwanga lyonna.

TAGGED:
Share This Article
Leave a Comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *