Abakulu mu minisitule ekola ku by’entambula ne nguudo bakedde kusenda basuubuzi ababade batandise okwesenza ku mbalaza zoluguudo oluva e busega okutuuka e Bulenga ku luguudo okudde e Mityana.Bano batubuulidde nti abasuubuzi bano kye bakola kibadde kimenya mateeka,era nga baludde nga babalabula okulwetegula naye nga balinga abafuuyira endiga omulere. Bbo abasuubuzi abakoseddwa , basigadde bakkukuluma.