Aba World Answers Church beekubidde enduulu

Joseph Tumwesigye
0 Min Read

Abatwala ekkanisa ya World Answers church International esangibwa e Seguku Katale bbalaze obwenyamivu olwa kkooti okukandaaliriza omusango ogukwata ku ttaka lyabwe. Bano bagugulana ne Christopher Kawesa. Ekitundu bano kye bagugulanako kkooti yayisa ekiragiro obutakolerako kintu kyonna wabula ab’ekkanisa bagamba nti ebizimbe ebiwera bimeruse ekibaleetedde okweraliikirira. Ekyewuunyisa nti waliwo n’abanene mu gavumenti abeenyigidde mu kuzimba ku ttaka lino.

Share This Article
Leave a review

Leave a Review

Your email address will not be published. Required fields are marked *