Abasajja babiri abavunaanwa ogw’okutta eyali omumyuka wa ssaabawabi wa gavumenti Joan kagezi leero basimbiddwa mu kkooti esookerwako e Nakawa ku misango gyobutemu buno. Kyokka bano babuulidde omulamuzi nti tebagenda kuddamu kujja mu kkooti eno, singa omuwaabi wa gavumenti taayanguwa kuleeta bujjulizi omusango gwabwe gusindikibwe mu kooti enkulu. Mu kaseera kano bakamala emyezi esatu ku alimanda.