Ku bantu ab’omuzinzi mu by’obufuzi bya Uganda abeesozze olwokaano lw’okuvuganya ku kifo ky’omukulembeze w’eggwanga ye Nathan Nandala Mafaabi abadde omubaka wa Budadiri West mu disitulikiti ey’e Sironko.Mafaabi ono amanyiddwa kumpi kwetoloola eggwanga lyonna naddala mu bitundu ekibiina kye ki Forum for Democratic Change (FDC) gyekirina emirandira nga guno gugenda kuba mulundi gwakutaano nga kyetaba mu kalulu k’obwa pulezidenti.Katulabe ebimukwatako.